John 11

Okufa kwa Laazaalo

1 aAwo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali. 2 bMaliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze. 3 cAwo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, “Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo.”

4 dNaye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, “Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa.” 5Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali 6n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali. 7 eAwo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.”

8 fKyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?”

9 gYesu n’abaddamu nti, “Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba. 10Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.”

11 hBwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, “Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa.”

12Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka.” 13 iNaye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.

14Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, “Laazaalo afudde. 15Naye ku lw’obulungi bwammwe, nsanyuse kubanga ssaaliyo, mulyoke mukkirize; kale mujje tugende gy’ali.”

16 jAwo Tomasi eyayitibwanga Didumo
Didumo okutegeeza nti mulongo
n’agamba banne nti, “Ka tugende tufiire wamu naye.”

17 lBwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 18 mBesaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu. 19 nAbayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe. 20 oMaliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde. 21 pAwo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. 22 qEra kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa.”

23Yesu n’agamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira.”

24 rMaliza n’amuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero.”

25 sYesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, 26na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?”

27 tMaliza n’amugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”

28 uAwo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.” 29Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu. 30 vYesu yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana nga tannatuuka mu kibuga. 31 wAbayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ng’ayimiridde mangu ng’afuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo.

32 xMaliyamu bwe yatuuka awali Yesu n’afukamira ku bigere bye, nga bw’agamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”

33 yYesu bwe yamulaba ng’akaaba era n’Abayudaaya abaali naye nga bakaaba n’anyolwa mu mutima, n’ajjula obuyinike. 34N’abuuza nti, “Mwamuteeka wa?”

Ne bamugamba nti, “Mukama waffe jjangu olabeyo.”

35 zYesu n’akaaba amaziga.

36 aaAwo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ng’abadde amwagala nnyo!”

37 abNaye abamu ku bo ne bagamba nti, “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?”

Yesu Azuukiza Laazaalo

38 acAwo Yesu ne yeeyongera okujjula obuyinike. N’atuuka ku ntaana. Yali mpuku ng’eggaliddwawo n’ejjinja. 39 adYesu n’agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.”

Naye Maliza, mwannyina w’omufu, n’amugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.”

40 aeYesu n’amuddamu nti, “Saakugambye nti bw’onokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”

41 afNe baggyawo ejjinja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’agamba nti, “Kitange nkwebaza olw’okumpulira. 42 agMmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olw’abantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti ggwe wantuma.”

43 ahBwe yamala okwogera bw’atyo, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Laazaalo fuluma.” 44 aiAwo Laazaalo n’ava mu ntaana, ng’amagulu ge n’emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n’ekiremba kisibiddwa ku maaso ge.

Yesu n’abagamba nti, “Mumusumulule atambule.”

45 ajBangi ku Bayudaaya abajja ne Maliyamu bwe baalaba Yesu ky’akoze ne bamukkiriza. 46Naye abalala ne bagenda eri Abafalisaayo ne babategeeza Yesu kye yakola.

47 akAwo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuuza olukiiko ne bagamba nti, “Tukole ki? Kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi. 48Bwe tumuleka bw’atyo, abantu bonna bajja kumukkiriza bamugoberere, n’ekirivaamu Abaruumi bagenda kujja bazikirize ekifo ekitukuvu n’eggwanga lyaffe.”

49 alAwo omu ku bo, Kayaafa eyali Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo, n’abagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi. 50 amTemulaba nti kirungi omuntu omu afe, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”

51Ekyo Kayaafa teyakyogera ku bubwe, wabula ye nga Kabona Asinga Obukulu, yayogera eby’obunnabbi nti Yesu yali anaatera okufiirira eggwanga, 52 anate si ggwanga lyokka naye n’okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana. 53 aoOkuva ku lunaku olwo abakulembeze b’Abayudaaya ne basala amagezi okutta Yesu.

54 apNoolwekyo, Yesu n’alekayo okutambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n’avaayo n’alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu, n’abeera eyo n’abayigirizwa be.

55 aqEmbaga y’Abayudaaya ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo ne bambuka e Yerusaalemi okukola omukolo ogw’okwetukuza ng’embaga tennatuuka. 56 arBwe baali bakuŋŋaanidde mu Yeekaalu, ne banoonya Yesu, ne beebuuzaganya nti, “Mulowooza mutya? Yesu tajje ku mbaga?” 57Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baali balagidde nti, Omuntu yenna bw’amanya Yesu wali abategeeze, balyoke bamukwate.

Copyright information for LugEEEE